Engero (Proverbs)

Engeros (Proverbs)
OLUGERO:

Kitentegere
OKIDDIBWAMU:
yakuzaaza olugambo lwenkya

KYETUYIGA:

Omuntu ng?anakuleetra obuzibu yakwesooka.
OKIDDIBWAMU:
Tezirwa!

KYETUYIGA:

Ekintu kisaana okwetegekera (oyinza okulowooza nti kinaalwawo n?oswala ku nkomerero nga kituuse mangu)
OKIDDIBWAMU:
bw’okisubula tokivaako nga tekikusiize masanda

KYETUYIGA:

Ekirungi okukituukako okkanira, oluusi kiddugaza amasanda

Bwakedde mpulira bwataba mubbi aba musezi
Gw’olinda obuto y’akulinda bukadde
Gw’olulambuza y’alusalako (olusuku)
Gw’osenvuza mu buto akusenvuza mu bukadde
Kaabulindiridde ng?akannya k?omu mulyango, bwe katayasa nsuwa, kamenya kugulu.
Kaabulindiridde ng?omusanvu oguli kunju, bwe gutakuba nnyinimu ne guggala (enju).
Kabula we kalaga bakatema ngalo
Kabuze n?empulutu nti oluwadde lw?ekiwumbiro
Kabwa kabbi kagumya mugongo.
Kafa omukkuto tekaluluma
Kagubiiru ng?omutwe gw?omunafu gugenda gwetisse ate gudda gwetisse gugendera mu lusekese lwanku neguddira mu nkota y?ettooke.
Kamalabyonna ng?eggalo ensajja yekuba ennoga ate ne litta n?ensekere.
Kirinsanga ewange emmese efiira mu bunnya
Kiro kitwala omunaku ennyenge eyita ku mumwa gw?enkoko
Kiro kyakulimbyeki y?akuzaaza olugambo lwenkya
Kiryokya ennungi kye kiryokya embi
Kisala obulungi kye kikuwa embikka
Kisiibule omusota bwoya, omuyima mpale
Kitentegere bw’okisubula tokivaako nga tekikusiize masanda
Ky’otomanyi bwe kiba amazina g’ekirevu ogalabira ku mmere
Ssentamu nkadde togiteresa muno
Z?abaana nga waliyo owuwo
Z?olaga omulungi tezirwa kukya Ng?obadde tonulina
Z?olaga ow?ebbanja Tezirwa!
Zaali embikke Kati nsagazi eziwunga
Zaatusanga babiri bw?agaggawala takuwa
Zabakyala Buli afuluma asinda zize
Zansanze enswa emu eruma omumwa
Zantanna embaga nga kyakwambala talina
Zenkanankana n?ebisiki Tezaaka
Zibeera nnyingi (endege) ne zivuga
Zikeeta (endaggu) y?azisigula
Zikulabira w?otoove
Zikulaga emirimu abajja muyini oba atunda migavu
Zikulemye Ezaalema Ntambi e Lubya.
Zikusanze! Ezisanga lumonde mu ttaka, ttaka wa ggwanga
Zikusooka Nezitakuva nnyuma
Zimba nnene Tagikubeera
Zinaabala Teziranda (ggobe) kugenda wala
Zinaakalira mu kkubo Teyekkaanya agafumbye bw?afaanana
Ziribbbukira mu mabidde Yeerabira enkenku
Zirindaba olwange Tawa musibe mmere
Zitemwa kumu Ne zaawukanya emibala.

4 thoughts on “Engero (Proverbs)

Leave a Reply

Fill in your details below or click an icon to log in:

WordPress.com Logo

You are commenting using your WordPress.com account. Log Out / Change )

Twitter picture

You are commenting using your Twitter account. Log Out / Change )

Facebook photo

You are commenting using your Facebook account. Log Out / Change )

Google+ photo

You are commenting using your Google+ account. Log Out / Change )

Connecting to %s